Omuzannyo gwa Volleyball: eza Africa zone 5 zikyagenda mu maaso
Empaaka za Africa Zone 5 Volleyball Championship ziyingide olunaku olw'okubiri ku kisawe kya Lugogo Indoor Arena. Mu gimu ku mizannyo egizanyiddwa : mu bakazi tiimu ya Sport S ekubye eya VVC nga zonna za uganda ,ate bannantamegwa b'e mpakka ziino aba Pipe Line abava mu Kenya bakubye Prisons aba Tanzania seeti ssaatu ku bwereere. Mu basaaja APR abava e Rwanda bakubye KAVC , aba Uganda seeti ssatu ku bwereere.Empaaka ziino ezatandise lunaku lwa jjo e Lugogo ne old kampala zakuzanyibwa okutuuka ku Sunday.