Gav’t yeesamudde okuba n’akakwate konna n’akabinja ka M23
Gavumenti yesamudde okubaako n’enkolagana yonna n’obubinja obw’enjawulo obwabamukwata mmuntu abatigomya eggwanga lya Democratic Republic of Congo. Okusinziira ku minisita omubeezi ow’ensonga zamawanga g'omuliraano John Mulimba, Okuva mu 2013 ezze yenyigira mu nteekateeka ezenjawulo okunyweza emirimbe mu ggwanga lino. Olwaleero Mulimba asomedde palamenti ekiwandiiko ku bigenda mu maaso mu ggwanga lya Congo mwategeerezza nti embeera naddala mu Kibuga Kinshasa emaze okudda mu nteeko.