Gavumenti etekateeka kuggulako Dr. Besigye misango mirala
Oludda oluwaabi mu musango oguvunaanwa Dr. Kizza Besigye, Obedi Lutale kwosa omujaasi wa UPDF Capt Denis Ola lutegezeza nga bwewaliwo enongosereza zerwetaaga okukola mu mpaaba. Bino babitegeeredde mu kooti ennakawa Besigye ne banne gyebabade baleeteddwa okumanya ebikwata ku musango gwabwe, kyoka omulamuzi alina okuguwulira talabiseeko.Mu kooti kati baakuddamu okulabikayo nga 29th omwezi ogujja ogwomukaaga.