JOHN BIZIMUNGU: Embeera emuyinze
Musajjamukulu ow’emyaka 81 nga mutuuze w’e Lukuli-Nanganda asobeddwa oluvannyuma lwa landiloodi okumuwa ennaku 15 ave mu muzigo gwe anoonye gy’alaga oluvannyuma lw’ebigambibwa nti w’abadde abeera yatunzeewo. Bizimungu ng’oggyeeko okuba omukadde, aliko obulemu oluvannyuma lw’okutemwako okugulu olw’obulwadde bw’enjovu. Talina waaluganda okuggyako omuzirakisa abadde amulabirira naye atuuse okulemererwa oluvannyuma lw’ababadde bamukwasizako okumwabulira.