Joseph Lubega akomyewo mu nsiike y’omuzannyo gw’ebikonde
Munnayuganda omukubi w’ebikonde Joseph Lubega amanyiddwa nga Joey Vegas Lubega abakanye n’okweteekerateekera olulwana lwe olw’omulundi ogwa 47 mu bikonde by’ensimbi. Ono waakuttunka ne Munnansi wa Tanzania Mbaluku Kheri mu buzito bwa Light heavy weight nga ze kkiro wakati wa 76 ne 79 ku Lwokutaano lwa wiiki gye tutandika e Lugogo.