Enkuuka: Abawagizi Alien Skin balwanidde mu Lubiri
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayagalizza abantu be omwaka 2025 ogujjudde ebirungi n’abeebaza olw’okumusabira mukiseera mwabadde afunira obujjanjabi.Kabaka yasiimye nalabikako eri obuganda mu Nkuuka etegebwa obwakabaka bwa Buganda ng’omukolo omutongole oguggalawo omwaka.Kyokka omukolo gwafunyeemu akacankalano ekibinja ky’abavubuka ababadde n’omuyimbi Alien Skin bwebakakkanye ku bantu abazze mukivvulu kino nebabakuba egakonde n’ensambaggere.Aniwalu Katamba kaatunyumize eby’omulubiri nga bwebyaabadde.