Kaliisoliiso aggadde ekizimbe e Luwero lwa nguzi, abapangisa bagobeddwa
Amyuka Kaliisoliiso wa Govrnment Anne Muhairwe aliko ekizimbe kyalagidde kiggalwe era nabapangisa bakifulume mu tawuni council ye Luwero nga kino kiriko ebibuuzo bingi ku ngeri gya kyazimbibwa ku ttaka lya tawuni kanso. Abatuuze mu kitundu kino balumirizza Meeya wa Town Kanso y’e Luwero okubaako nekyamanyi ku by’ekizimbe kino ekireeseewo okuwanyisiganya ebisongovu.