Kamuli COU primary school lijaguzza emyaka 100, Nabbanja alidduukiridde
Ssabaminista wa Uganda Robinah Nabbanja akaayukidde amasomero agajja ssente ku bazadde mu masomero ga gavumenti ng’agamba nti kigotaanya enteekateeka yagavumenti ey’okutuusa eby’enjigiriza ebyobwereere ku bannayuganda. Nabbanja abadde ku mukolo essomero lya Kamuli Church of Uganda Primary School e Kireka kwelijagulizza emyaka kikumi bukya litandikawo. Omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale asabye gavumenti erowooze ku ky’okuwa bannaddiini ebintu eby’enkizo mu gavumenti naddala nga mu kitongole ky’ebyenjigiriza.