Kasolo ne Kisekulo battukizza enkolagana yaabwe
Ssentebe wa disitulikiti ye Kyotera era omuwagizi wa NRM lukulwe Patrick Kintu kisekulo yeetondedde minisita owa bubanka obutonotono Haruna Kyeyune kasolo olw'okumulimirira ekyamuleetera okuggwa mu kalulu ka 2021 ku kifo ky'omubaka w'e kitundu kino. Kinajjukirwa nti mu kulonda kuno Kisekulo yeegatta ne banna DP okukolokota kyeyune okukakana nga John Paul Mpalanyi Lukwago y'awangudde eky'obubaka bwa Kyotera mu Palamenti. Bino ebyogeredde ku mukolo ogwategekeddwa e Kyotera okutabaganya abakulu bano abaludde ebbanga nga tebalima kambugu.