Katemba mu kuziika Ssegirinya, poliisi kata bugyefuke ne banna-NUP
Wabaddewo okusika omuguwa ku mukolo gw’okuziika abadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya , palamenti bweremeddwa okukaanya ne bannakibiina ki NUP ku kifo ekituufu awabadde walina okutegekebwa omukolo ogw’okumukungubagira. Ku biragiro bya bannakibiina ki NUP, omukolo gutegekeddwa ku maka g’omugenzi,kyoka nga ne palamenti yabadde etegese ku kisaaawe kye Butale.Tukitegedde nti amaggye ne poliisi bigezezaako okuwamba omulambo ggwa Ssegirinya,kyoka ne biremesebwa.