Kaziimba akalaatidde bannabyabufuzi ng’akalulu kabindabinda
Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Stephen Kazimba Mugalu asabye bannayuganda okwewala ebyobufuzi ebisiga obukyayi mu bantu ngeggwanga lyetegekera akalulu ka donna aka 2026. Kazimba agamba kyetagiisa bannabyabafuzi okuwa endowooza ya buli muntu ekitiibwa ne bweba tebasanyusa okwewala embeera y’obutabanguko mu byobufuzi. Ono yaabadde akulembeddemu okusaba okumalako omwaka n’okwaniriza omujja ku lutikko ya All Saints e Nakasero.