Laddu ekubye abantu 6 e Mukono, omu afiiriddewo
Abatuuze ku kyalo Mpunge mu ggombolola ye Mpunge mu district ye Mukono nakati bakyali mu kutya oluvanyuma lwa laddu okukuba abavubuka mukaaga omu nafiirawo. Omugenzi ategerekese nga ye Juma Wamusibu ow’emyaka 21,abalala abaasimattuse bali mu ddwaliro banyiga biwundu. Bino byabaddewo mu nnamutikwa we nkuba eyatonye akawungeezi k’eggulo.