Lukwago ne banne beewadde omwezi gumu okunoonya emikono n'okuwandiisa PFF
Ab'ekiwayi kya FDC ekye Katonga beewadde omwezi gumu gwokka okulaba nga banoonya emikono egyetaagisa okuwandiisa ekibiina ki Peoples' Front for FreedomKino kiddiridde akakiiko k'ebyokulonda okubakkiriza okugenda mu maaso n 'enteekateeka eno Omukulembeze w'ekiwayi kino ow'ekiseera Erias Lukwago mwennyamivu nti akakiiko kabamalidde ebiseera mu bitaliimu .