Luyimbaazi Nalukoola ayogedde omulundi ogusoose mu palamenti
Omubaka wa Kawempe North omuggya Elias Luyimbazi Nalukoola atandise na maanyi okuteesa mu palamenti, ng'omulundi gwe ogusoose mu ddiiro asabye aleete ennongoosereza mu tteeka erissaawo akakiiko k'ebyokulonda, ebyamutuukako nga awenja akalulu, bireme kuddamu kutuuka ku muntu mulala yenna.Nalukoola agamba ayagala aleete etteeka erikugira abamagye ga UPDF okweyingiza mu nsonga z'okulonda.Ono era ayagala n'abantu bonna baakwatibwa mu ne bakaligibwa kkooti y'amagye bayimbulwe bunnambiro kubanga kkooti eyo kyalangirirwa nti eriwo mu bumenyi bw'amateeka.