Minisita Kasolo alabudde ku magoba aga wagulu ba ‘money lender’ ge basaba
Minisita omubeezi ow’obwegasi Haruna Kasolo ategeezezza bannakiboga nga Palamenti bwe yayisizza ebbago ly'etteeka okussa ekkomo ku magoba ba money lenders, ge bajja ku bantu ababeewolako ensimbi. Kasolo agamba okusinziira ku tteeka eppya amagoba sigaagusukka ebitundu bibiri n'obutundutundu muaana ku buli kikumi. Kasolo abadde ku mukolo gwa NRM ogwokunyweza obuwagizi bw'ekibiina mu kitundu kino, ayambalidde ne bannakibiina abalwanyisa bannaabwe.