Molly Katanga ayagala akulira oludda oluwaabi akyusibwe
Bannamatteeka babawawabirwa mu musango oguvunaanibwa Molly Katanga ,olwokutta bba Henry Katanga leero balemeseza abantu babiri ab’oludda oluwaabi okuwa obujulizi , era nebasaba ne kkooti eragire akulira oludda oluwaabi Samalie Wakooli ave mu musango guno , kubanga ajja kukozesebwa nga omujjulizi wa Molly Katanga yennyini avunaanibwa okutta bba . Wakoli nga ali ku ddaala lyabumyuka bwa Ssaabawaabi wa Gavumenti abadde yategeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu eno Isaac Muwata nga bwebabadde betegese n’abajulizi babiri okutandika omusango guno .