Mpuuga ayanjudde ekibiina ekigenda okuvuganya mu kalulu ka 2026
Eyali amyuka Pulezidenti wa NUP mu Buganda era omubaka wa Nyendo- Mukungwe Mathias Mpuuga ayajundde ekibiina ekipya ki Democratic Front ekigenda okuvuganya mu Kaluku ka bona aka 2026. Ekibiina kino kyeyubudde okuva mu Green Partisan Party era nga kirimu bannabyabufuzi okuva mu bibiina okuli NUP, SDP oba Social Democratic Party, PDP oba Peoples Development Party n’ekisinde ki Democratic Aliance.
Ng’ayanjula ekibiina kino Mpuuga anoogaanyizza obukulu bw’oludda oluvuganya okukolaganira awamu okusobola okukyusa obukulembeze bw’eggwanga