Muhammad Ssegirinya aziikiddwa, bannabyabufuzi beefuze omukolo
Abadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya aziikiddwa ku biggya bya bajajjaabe e Kaduggala mu Masaka. Bannabyabufuzi naddala okuva mu kibiina ki NUP nga bakulembeddwamu akulira ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu boogedde ku mugenzi ng’abadde munankyukakyuka era abadde anyweredde ku nono z’ekibiina.Ssegirinya aziikiddwa mu bitiibwa ebiweebwa omubaka wa palamenti .