Musomese abantu okukola, Pulezidenti awabudde abakulira enzikiriza
Pulezidenti Yoweri Museveni asabye abakulembeze b'enzikiriza okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti e’z'okukulakulanya abantu mu kifo ky'okwesiba ku kulyowa emyooyo kyokka. Mu bubaka bw'atise Ssaabaminisita Robinah Nabbanja pulezidenti ayagala bannayuganda bakuume emirembe kibasobozese okutuuka ku nkulakulana. Bino bibadde mumusomo gw’ekisinde ky’abakristu abakatoliki mu kibiina kya Charismatic renewal mu ssaza ekkulu erye Mbarara.