NRM ewakanyizza obuwanguzi bwa Nalukoola mu kalulu ka Kawempe North
Bannakibiina ki NRM bawakanyizza ebyalangiriddwa akakiiko k’eby’okulonda mu kalulu k’okujjuza ekifo kya Kawempe North mwekyategeereddwa nti Elias Luyimbaazi Nalukoola owa NUP y'awangudde. Bagamba nti waliwo ebifo ebimu obululu bwayo jebutaabaliddwa kyebagamba nti kyazingamiza obuwanguzi bwabwe. Ssaabawandiisi wa NRM Richard Twodong agamba nti bakaanyiza ng’olukiiko lwa NRM olw’okuntuko okukwaata ekkubo ly’amateeka okulaba nga bafuna obwenkanya.