Obufere mu zzaabu, e Ntebe waliwo akwatiddwa
Police Entebbe n'akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g'omukulembeze baliko ekikwekweto kye bakoze, mwe bagwiiridde ku kifo ekijudde zzaabu ow'ebicupuli n'ensimbi. Kino kizzeewo oluvannyuma lw'amawulire ameekusifu bano gebazze bafuna nti waliwo zzaabu omujingirire ayisibwa ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe okugenda mu mawanga amalala. Tutegeezeddwa nti ensimbi ezisangiddwayo ziri kumpi mu bukadde busatu obwa doola wabula ng'ezisinga bicupuli.