Omukazi eyalabikidde mu katambi ng'atulugunya omwana akwatiddwa, abyegaanye
Kizuuse ng'Omukazi alabikira mu katambi akazze kasaasaanira ku mikutu gya Social Media, ngatulugunyiza omwana mu kinaabira ye Precious Tumuhirwe ng'ono mu kiseera kino yamaze dda okukwatibwa. Tumuhirwe yeegaanye ebyokutulugunya omwana ono ng'agamba nti yaseerera naagwa bwe yali agezaako okumuyonja ngamaze okweyonoonera. Ono yakwatiddwa Kabale era nga wetuggyidde ku mpewo ng'ono ali mu kuleetebwa Kampala gye yaddizza omusango asobole okubitebya.