Abalimi b’emmwanyi e Kassanda, baagala gavumenti esomese abalimi ku teeka ly’emmwaanyi
Abalimi b’emmwanyi e Kassanda, baagala gavumenti esomese abalimi ku teeka ly’emmwaanyi eryakayisibwa gyebuvuddeko, ngabagamba nti okuva lweryaayisibwa baggwaamu essubi okuddayo okufuna mu mmwaanyi zaabwe. Nga oggyeeko obutamanya webayimiridde ku songa yóbukulembeze ku kirime kino, balina nóbuzibu bwámakubo gebagamba nti tegabasobozesa kutambuza mmwanyi zabwe, ssente zonna ziggweera mu ntambura nga banoonya obutale.