Waliwo abatandise okuyamba abazadde abatalina busobozi
Waliwo abakyala abeegattira mu kibiina ki Kisansa womens Group, abaavaayo okukwasizaako abazadde abatalina busobozi okuweerera n’okulabirira abaana baabwe. Bagamba nti kino baakikola okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka, n’abaana okuba ba kireereesi ku myaka emito. Kaweefuuwe wabwe ono atongozeddwa mu Butongole olunaku olwaleero.