Mathias Mpuuga asekeredde abeeteseteese okwesimbawo mukalulu akajja
Kamishona wa Palamenti Mathias Mpuuga, era nga yaliko akulira oludda lw’ababaka abavuganya mu Palamenti, asekeredde abo bonna abeeteseteese okwesimbawo mukalulu akajja, nga tebamaze kukola nnongoosereza mũ mateeka naddala agafuga eby’okulonda. Agamba kyebaliko bamala biseera, okuggyako nga bakwatidde wamu okuletawo ennongoosereza zino, nti akalulu kano lwekajja okukola amakulu.