Eyatulugunyiza omwana wakumala emyaka 40 e Luzira
Kkooti y'e Kira ekilize omukazi Precious Tumuhirwe mu nkomyo okumala emyaka 40 ku musango gw'okutulugunya omwana ow'emyaka 4. Ono yakwatibwa mu katambi ng’atuligunya omwana ow'emyaka 4 e Kikonko mu gombolola y'e Bweyogerere e Kira. Omulamuzi wa kkooti eno agamba nti emisango gw'okutulugunya abaana jibade jeyongede.