Minisita w’amasanyalaze n’obugaga obw’ensibo Ruth Nankabirwa awadde banna Uganda obyeyamo
Minisita w’amasanyalaze n’obugaga obw’ensibo Ruth Nankabirwa awadde banna Uganda obyeyamo nga Embeera y’amasanyalaze bwegenda okulongooka, oluvanyuma lw’ekitongole kya UMEME, kontulakita yaabwe okugwako, netaddizibwa bugya. Bwabadde akwasa ab’ekitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasannylaze mu ggwanga Licence, ki Uganda, Electricty, Distribution, compony Limited, ki UEDCL, Nankabirwa ategeezeza nti bamaze okwekenneenya e ekitongole ekino era nekizuulwa nti kikola bulungi omulimu gwakyo. Wabula asabye ba abakozesa amasannyalaze bonna okuba abagumiikiriza singa wabaawo ebitatambula bulungi mu mpeereza eno empya, nti byonna bijja kufuuka olufumo.