Abakulembeze be Nakawa, bategeezezza nga bwebagenda okutandika enkola ey’obutasasuza bakadde
Abakulembeze mu division eye Nakawa, bategeezezza nga bwebagenda okutandika enkola ey’obutasasuza bakadde abalina ennyumba z’obapangisa musolo ku nnyumba zaabwe. Bagamba nti tewali nsonga lwaki omukadde aggyibwako omusolo ku nnyumba, so nga ate zeezirina okumuyamba olwembeera. Bano batonedde abakadde bano ebintu ebyenjawulo okumalako omwaka obulungi. Ne Mu district y’e Mukono, waliyo ekibiina kyobwa nakyewa ekimazeeko omwaka n’abaana b’okunguudo, nekijjulo kwossa n’okubagabira ebintu ebyenjawulo.