Kabaka asiimywe nalabikako eri abantu be
Obunkenke n’ebigambo byabuutikira Obuganda ne Uganda okutwalira awamu Ssaabasajja Kabaka bweyafuna okusomooza kw’obulwadde natwalibwa mu ggwanga li Namibia okufuna okuwummulamu. Kino kyaviirako n’abamu ku bataka okubiteekamu engato baabo Namibia okumanya ebisingawo wadde nga tebakirizibwa kumulaba. Wabula oluvanyuma Kabaka yasiima n’adda okwaboobwe olwo Obuganda nebujjula essanyu.