Obukyafu bweyongedde mu kitundu kya makerere III mu gombolola ye Kawempe
Abatuuze ku kyalo Kibe ekisangibwa mu muluka gwa makerere III mu gombolola ye Kawempe banyamidde olwobukyafu obweyongera mukitundu kyabwe nga buno buva ku kasasiro assuse mu bantu. Nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe Sulaiman Busuulwa bayise olukuuki lw’Abannamawulire, mwebategeerezza nga endwadde z’obukyafu bwezibayinze, kyokka nga bekikwataako beefudde ba kyesirikidde. Bano meeya we kawempe abagumiza nga ensonga yabwe bwegenda okukolebwako.