Embiranye wakati wa UWA n’abatuuze ku kkuumiro lya Elgon eviiriddeko bangi okufa
Waakayita emyaka egisoba mu 30 okuva gavumenti lwe yatondawo ekkuumiro ly’ebisolo erya Mt. Elgon National Park naye abatuuze abaliraanye ekkuumiro lino mu bitundu by’e Sebei ne mu Bugisu bazze bagugulana n’abekitongole ky'ebyomunsiko ki Uganda Wildlife Authority ekiviiriddeko bangi okufa n’abalala okutuusibwako ebisago. Omusasi waffe Patrick Ssenyondo ye yalondodde embeera eno erabika nga siyakuggwa kati okuggyako nga waliwo ekikoleddwa okugigonjoola.