Okuzaala abatanneetuuka, abakugu bakiteeka ku ndya mbi mu balina embuto
Abakugu mu byobujanjabi bakizudde nti endya embi mu bakyala ab'embuto eviiriddeko abakyala e Kamwenge okuzaala abaana nga tebanatuuka. Okulira eddwaliro li Rukunyu General Hospital, Doctor Ivan Mujuni, agamba nti ku bakyala abasukka mu 300 abajja okunywa eddagala buli mwezi, abakyala abasoba mu 15 bebavaamu embuto n’abamu ne bazaala abaana abatanetuuka. Kati bano baagala gavumenti ebakwatireko mu kulwanyisa endwadde nga zino, sosi kuzirekera bitongole bya nakyewa.