Omwaka gwa jubileewo gugguddwawo n’essira ku kutebenkeza amaka
Eklezia mu nsi yona eggudewo omwaka gwa jubileewo ey’okusaasira ng’eno ebade mu masaza gona okwetoola ensi. Essira lissiddwa nnyo kukunweeza obutebenkevu mu maka kwosa n'okukuliza abaana ku musingi gweddiini. Ku luttiko e Lubaga emikolo jikulembeddwamu Ssaabasumba w’essaza ekkulu lya Kampala Paul Ssemwogerere, ono akalaatide abazadde okuzaala abaana be basobola.