Waliwo abavubuka mu ghetto abaasalawo okubudaabuda bannaabwe
Abantu naddala abavubuka abawangwalira mu bifo by’e nzigotta oba Gheto okunonyereza kuzze kulaga nti bebakyasinze okwetaba mu buzzi bw’emisango. Bangi ku bano beeraba nga abaakoma, era endwadde z’okwennyika mu mitima kiyite Depression kko n’okukabirirwa oba stress zibatawaanya nnyo,ekitta ebiseera byabwe eby’omumaaso. Kati mu mboozi ya leero tugenda kulaba abavubuka be kawempe abafuba okubudabuda banaabwe nga bayita mu diini.