OBWENE’ENGO BWA BUGWE: Ba minisita abaggya balayiziddwa
Amyuka akulira ettendekero ekkulu erye Makerere Professor Barnabas Nawangwe asuubizza okulaba ngatumbula ebyenjigiriza mu Bw'enengo bwa Bugwe oluvannyuma lw'okulayizibwa ku kifo kya minisita w'ebyenjigiriza ku lukiiko olupya olwalangiriddwa Omwenengo Phillip Wanyama Bahama Omwenengo akubirizza baminisita be ssaako abantu bakulembera okwewala okwawulayawula mu bantu Ebirala ba minisita abaggya bye baagenda okussaako essira mwemuli okulwanyisa obwavu n'ekibbattaka ssaako n'okutumbula ebyobulimi.