Ogw’ebijambiya by’e Masaka; erinnya lya Ssegirinya terinnaggyibwa ku biwandiiko
Okuwulira omusango gw’ettemu ly’ebijambiya by’e Masaka oguvunaanibwa omubaka Allan Ssewanyana n’abantu abalala 4 kugudde butaka olwaleero mu kkooti enkulu ewozesa bakalintalo . Kino kivudde ku ludda oluwaabi okulemererwa okukola enkyukakyuka mu mpaaba okuggyamu erinnya lya Muhammad Ssegirinya eyava mu bulamu bw’ensi eno nga kkooti eno bwe yali eragidde.Kkooti yeemu eno era ekitegedde ng’abajulizi mu musango gw’okukusa omuntu oguvunaanibwa. Omupoliisi Gilbert Bwana bwe batalabikako ekigiwalirizza okugwongezaayo.