OKUBOOGA KWA KATONGA: Olutindo olugatta gomba ku masaka nalwo mmye
Okubooga kw’omugga Katonga tekwakomye ku kusannyalaza byantambula ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka wabula n'ebitundu ebirala gyeguyita naddala mu bitundu bye Gomba Olutindo olugatta disitulikiti ye Gomba ne Masaka oluyita e Kifampa ne Vira Maria lwelumu ku zatwalidwa amazzi g'omugga guno era ng'eno abatuuze bali mu kusoberwa.