Abatuuze e Kasese balaajanidde abavunaanyizibwa okubataasa ku njovu ezibafuukidde ekizibu
Abatuuze ku kyalo Kireka e Kitswamba mu Kasese balaajanidde abavunaanyizibwa ku bisolo by’omunsiko okubataasa ku njovu ezibafuukidde ekizibu. Wetutuukiddeyo nga waliwo abaasimattuka nga banyiga biwundu. Basaba UWA bazimbe olukomera lw’amasannyalaze okutangira enjovu zino okubalumba.