Atingi-Ego alondeddwa nga gavana wa banka ya Uganda omujja
Kyadaaki banka enkulu eya Uganda efunye gavana ng’ono alondeddwa okudda mu bigere by’omugenzi Emmanuel Mutebire eyaffa mu January wa 2022. Okusinzira ku kibanja kya X oba twitter ow'amawulire mu maka g’obwapulezidenti Farouk Kirunda, Pulezidenti Museveni yalonze Atingi-Ego ku kifo ky’obwa governor ate n’amyukibwa Prof. Augustus Nuwagaba.