Abakulembeze e Kawempe beemulugunyiza ku bantu abeeyita abakozi ba KCCA ababajjako ssente
Abakulembeze mu division y’e Kawempe beemulugunyiza ku bantu abeeyita abakozi ba KCCA ababajjako ssente. Bagamba waliwo abeeyita ba Rapid Response Unit abakola ebikwekweto mu masomero, mu malwaliro n’ab’ebizimbe nga babajjamu ssente baleme okubagggala. Okusinziira ku KCCA bagamba abantu bangi ababerimbikamu nga bakola ekisoboka okulaba batereeza enkalala z’abakozi baabwe.