Mu manya amateeka, tugenda kumanya amateeka ku bantu abagatta eby’obugagga byabwe mu ndagaano emu
Ensangi zino abantu bamanyi okugulira awamu ebintu eby’enjawulo naddala ettaka wabula nga tebamanyi mateeka getoololera ku ndagaano ekikula kino. Olumu endagaano ezikolebwa mu nteekateeka eno ziba wakati waabo bennyini abaguzi, nti omu ku bbo nebwafa, eby’obugagga bye bisigala mu mikono gy’oyo bwebali naye mu ndagaano. Kati mu manya amateeka, tugenda kumanya amateeka ku bantu abagatta eby’obugagga byabwe mu ndagaano emu nga basukka mu omu.