Gav't eriko eddagala ly’obutonde ly'ekakasizza okujjanjaba senyiga ne covid
Gav’t ng’eyita mu minisitule ya sayansi ne tekinologiya eriko ebika by’eddagala ly’obutondo lyekakasiza nga bweriwonya ssenyiga ne Covid mu abantu. Eddagala lino ery’emirundi ebiri okuli Vidicine ne Tazcov lyonna lizuuliddwa nga bweriri eddungi mukuwonya endwadde zino. Minisita wa sayansi ne tekinologiya Monica Musenero ategeezeza nga bweriyisiddwa mukugezesebwa okwenjawulo era nerikakasibwa nga teririna bulabe bwonna ku muntu.