Bana Rotary y’e Kira badduukiridde essomero e Jinja n'ebikozesebwa
Bana Rotary y’e Kira badduukiridde essomero li Kivubuka Primary School erisangibwa e Jinja, n'ebikozesebwa omuli okweyama okubazimbira kabuyonjo, okwo kwosa ekikomera ku ssomero lino. Bano bagamba okusalawo kuno bakutuukako omwaka oguwedde, bwebaali bazze okuziika mu kitundu kino, wabula nebasanga nga embeera essomero lino mweriri eyungula ezziga.