Akakiiko k’eby’okulonda kongezaayo okuzza obuggya enkalala z’abalonzi
Akakiiko k’eby’okulonda kongezaayo okukebera enkalala z’abalonzi ennaku 7 nga kati bakumaliriza nga 17 February ow’omwaka guno. Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda omulamuzi Simon Byabakama kino bakikoze okuwa buli muntu omwaganya okwetaba mu nteeketeela eno. Akakiiko era kagamba kivudde ku bantu okuva mu bitundu eby’enjawulo okwemulugunya ku nsonga ez’enjawulo ezibadde zitaataganya omulimu guno.