Okufukirira ebirime e Kasese; gav’t eriko tekinologiya gw’ereese okutaasa abalimi
Waliwo Tekinologiya aleeteddwa okuyamba ku balimi b'e Kasese okufukirira ebirime byabwe obulungi. Abalimi bano be balimira mu kibangirizi kya Mubuku Irrigation Scheme. Tekinologiya ono okuleetebwa, abalimi babadde batandise okwerumaluma nga buli omu akaayanira amazzi okusobola okufukira ebirime bye.