Okuggyawo akakalu ka poliisi; abalwanirizi b’eddembe balabudde ku bijja okuddirira
Museveni yalaze owennyamivu olw'obuzzi bw'emisango okweyongera emitonotono omuli n'obubbi bw'ente. Wabula bannamateeka n'abalwanirizi beddembe lyobuntu balabudde nti singa kino kikolebwa kyakwongera okuzibuwaliza abantu okufuna obwenkanya kubanga Poliisi terina busobozi bunoonyereza mangu ku misango. Bano era bagamba nti kino kirinnyirira eddembe ly'obuntu erirambikiddwa mu ssemateeka.