Okukyala kwa Paapa mu Uganda, eyabumba ekijjukizo e Munyonyo talikwerabira
Nga Uganda yekateekera okukyala kwa paapa Francis mu mwaka 2015, ekeleziya katolika n’abakwatibwako ensonga abalala babakana ne kaweefube w’okuyoyoota ebifo weyali asuubirwa okuwuubako olubu lwekigere - omuli amasinzizo, kko nenguudo.Leero tugenda kulaba emboozi y’omusomesa we Makerere,nga ono yeyabumba ekibumbe ky’omutuukirivu Andrew Kaggwa ekyateekebwa ku Kiggwa e Munyonyo nga kino paapa yakisiima n’akiwa n’omukukisa.