Okulabirira ababundabunda :Gavumenti egamba etendewaliddwa
Abakulu mu Wofiisi ya ssabaminita babuulidde palamenti nga uganda bweyolekedde okufuna ekizibu ky’okuliisa n’okulabirira ababundabunda, nga omutawaana guva ku bbula lya nsimbi. Minisita owa guno naguli Justice Kasule Lumumba agambye nti ababundabunda bulijjo babalabirira na nsimbi za bavujjirizi , kyoka mu kaseera kano nazo zafuuse za kekkwa. Kati bano baagala palamenti ebagambire ku gavumenti ebawe ku nsimbi ezimala mu mbalirira yomwaka gwebyensimbi oguggya 2025/2026.