Okusasula abayizi ensimbi :Ab’amasomero ga bonna-basome e Luweero bakunyiziddwa
Akakiiko akalera obwenkanya ka Equal Opportunities Commission kaliko abakulu b'amasomero ga primary ne siniya aga bonna basome , agawerera ddala 33 begakunyizza ku nsonga y’okuggyanga ensimbi ku bayizi, so nga bakimanyi nti okusoma kwa bwereere. Okusinziira ku kakiiko kano, bano kye bakola kimenya amateeka so nga kiba kiggyewo n'obwenkanya eri abaana abo abaweebwa eddembe mu ssemateeka okufuna obuyigirize. Abakulu b'amasomero gano bbo bewozezzaako nti ensimbi zebaggya ku bayizi bano,zibayambako okuziba ebituli gavumenti by'eba eremereddwa omuli okuliisa abaana n'ebirala.