OKUTAASA LUBIGI: E Nansana abaamenyebwa bazzeemu okuzimba
Waliwo abamu ku batuuze mu Nansana West NEMA beyamenyera amayumba, abasazeewo okuddamu okugazimba wennyini webaagobebwa. Abatuuze bano balumiriza nti NEMA yabamenya tesoose kubawuliriza kubanga balina ebiwandiiko ebibakkiriza okubeerawo. NEMA nno bano ebalabudde nti webituuse egenda kubakwata ebakube mu mbuga z'amateeka.